OKUTENDEKA ABAGOBA B’ENNYONYI: Waliwo ekyuma ekitongozeddwa okubayambako
Waliwo ekyuma ekitongozeddwa Ekitongole ekivunannyizibwa ku by'entambula by'ennyonyi mu ggwnga okubangula abayizi mu kuvuga oba okugoba ennyonyi. Ekyuma kino nga kyekisookedde ddala mu Buvanjuba n'amaserengeta ga Africa kikozesa tekinologiya wa waggulu era nga omuyizi aba nga ali mu nnyonyi y'ennyinbi. Abakulu mu kitongole kino balina essuubi ntikino kyakuyamba okwongera ku bukugu bw'abagoba b'ennyonyi.