OKUTAASA OBUTONDE: NMG esse omukago ne munisipaali ye Entebbe
Abakulira kampuni ya Nation Media Group olwaleero base omukago era nebassa omukono ku ndagaano ne Munisipaali ye Entebbe , mu kwetegekera olukungaana ttabimiruka olugenderera okutema empenda ku kukuuma obutonde bw'ensi ku lukalu lw'africa n'ensi yonna okulwalira awamu .
Olukiiko olwogerwako lwakubaawo wakati wa munaana ne kumi mu Decemba w'omwaka guno .
Bano bagamba nti ensi bwetunula obutunuzi nga obutonde bw'ensi busaanawo , kino kyakukosa obulamu bwabantu.