OKUSINZA MU MUGGALO: Ssaabalabirizi Daniel Matte akalaatidde abakkiriza
E kanisa y'abadiventi efulumizza enteekateeka egenda okugobererwa mu kusaba mu kiseera nga ekanisa nzigale. Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’abadiventi Dr Daniel Matte mu lukungaana lwa bannamawulire akubirizza abakkiriza okuteekateeka amaka gaabwe kubanga gegagenda kufuuka masinzizo. Ono agamba nti baakugoberera enteekateeka y'ekkanisa naye nga basinziira mu maka gaabwe . Kyokka abasabye okukuuma emirembe mu maka okwawukanako omuggalo ogwasooka omwali obutabanguko obungi mu maka.