Okusaggulira NUP obuwagizi :Ssenyonyi; poliisi tejja kututiisatisa
Abakulu mu kibiina ki NUP bagamba nti tebagenda kukkiriza babyakwerinda kutaataganya mirimu gyabawe nga bakunga obuwagizi bw’ekibiina kyabwe.
Bano bagenda kusisinkana nga ekibiina basalewo butya bwebagenda okugenda mu maaso n’omulimu gw’okukunga obuwagizi bw’ekibiina kyabwe owatali kulemesebwa kwonna.
Omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Ssenyonyi, ate nga ayakulira oludda oluvuganya mu palamenti okwogera bino nga poliisi eyimirizza aba NUP okutalaga ebitundu okuli Bugweri, Paliisa ne Soroti, okubadde kulina okutandika olunaku olw’enkya olw'ensonga enzejawulo kyokka nga agamba nti ensonga zino bazoogerako dda.
Poliisi bano eyagala ebasisinkane nga 8 omwezi ogujja okulaba butya bwe bakolagana.