OKUNYWEZA EBYOKWERINDA; Ebitongole ebikessi mu mawanga 10 bisisinkanye Entebbe
Abakulu mu bitongole ebikessi okuva mu mawanga 10 ku lukalu lwa Africa wansi w'omukago gu Easter Africa Fusion and Liaison Unity batandise okutema empenda mwebasuubira okuyita okukomya obutujju nga bali wamu. Akulira ekitongole ekikettera munda mu ggwanga/ISO Col. Charles Oluka agamba ng'oggyeko bbomu 2 ezakabaluka n’ezitta n'okulumya abantu, waliwo endala 47 zebaakategula mu bbanga eritali ly'ewala. Ono agamba nti ke kaseera amawanga ga Africa okutandika okwelwanako gokka kubanga abeefula okubawa obuyambi babeera ne byebagala okuyisawo.