OKULWANYISA OBULYAKE: Saabaminisita Nabbanja agamba waliwo abamutisaatisa
saabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti waliwo abatandise okumutisatiisa n'okulondoola famile ye nga bagala emugambeko ave ku kawefube gwaliko ow'okulwanyisa enguzi mu wofiisi ya Ssaabaminisita. Wabula Nabbanja agamba tasobola kuva ku mulamwa kubanga ye kyayagala bwebuwereza okutuuka eri abantu.