OKULWANYISA ENVUBA EMBI: Amagye gazzeemu ebikwekweto ku nnyanja Kyoga
Ku lw’omukaaga lwa sabiiti ewedde twakulaga abavubi ku nyanja Kyoga mu district ye Nakasongola nga bemulugunya ku nvuba embi eyali ekomyewo ku nyanja eno nga wakayita emyezi mitono nga government ekkirizza obuvubi buddemu.
Waliwo abavubi abaakiteeka ku magye agakuuma enyanja nti tegakoze kimala nga gagya sente ku bavuba obubi kyoka nago gaanukudde negateeza ng’a bwegaluma n’ogwengulu ku nvuba embi era waliwo obwato obuwerako obukwatiddwa n’obumu nga bwatekeddwa omuliro.