OKULWANYISA EBIJAMBIYA: Poliisi esabye bannayuganda okubeera n’obude mu nju
Poliisi esabye ba landiloodi n’abalina amayumba abalala okuteeka obudDe ne kamera enkessi ku maka gaabwe nga emu ku ngeri y'okwerinda abebijambiya abesomye ensanji zino. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba obudde buno bwanguwa okukunga abadduukirize n'okukanga abamenyi baamateeka bano. Enanga agamba kati baakakwata abateberezebwa okubeera ba kijambiya 178 nga abasinga bali wakati w’emyaka 18-24. Abantu abasuka mu 27 beebakalumbiwa abebijambiya mu banga lya wiiki emu , nga babiri ku bano bafudde.