OKULWANYISA COVID-19: Mu Kampala bayimirizza entuula za KCCA
Akakiiko akavunaanyizibw aku kulwanyisa COVID-19 mu Kampala nako kayimirizza entuula z'olukiiko lwa KCCA n'ezamagombolola gonna agakola kampala wakati mu kwerinda Ekirwadde kino. Kano era kaliko ebiragiro ebirala bye kalangiridde omuli okuwandiika buli muntu ayingira arcade okubasobozesa okumulondoola singa aba azuuliddwamu ekirwadde kino.