OKULWANYISA ABA ADF: Uganda enaasobola okubalumba e Congo?
Mu kaweefube w'okulondoola abali b'enguzi Kaliisoliiso wa gavumenti kati wakulondoola engeri abakungu ba gavumenti gyebatambuzaamu obulamu bwabwe n’ekigendererwa eky'okumanya wa abo abejalabye oba abalina ebyobugagga ebingi gyebajja ensimbi zino. Kaliisoliiso agamba Uganda efiirwa obuwumbi obuli eyo mu mutwalo gumu buli mwaka oba 10 trillion olw’obuli bwenguzi. Uganda yakwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwokulwanyisa obuli bw'enguzi nga 9 December 2021 nga era pulezidenti Museveni yew'okukulemberamu emikolo eginakwatibwa ku kisaawe e Kololo.