OKULONGOOSA AMAFUTA: Uganda egenda kukola endagaano ne kampuni z’abawarabu
Uganda eri mu nteekateeka ezisembayo oz’okussa omukono ku ndagaano ne Kampuni empya ezisangibwa mu United Arab emirates eza Alpha MBM invesitments okuzimba essengejjero ly’amafuta mu bitundu bye Kabaale e Hoima.Minisita w’ebyobugagga ebikusike Ruth Nankabirwa bino y’abitegeezezza ababaka ba mawanga abatuula kuno abatandise olugendo lwabwe olw’okulambula enzizi z’amafuta mu ggwanga.