OKULONDA KWA TAKISI KUYIISE: Mu Nyendo ab’ebyokwerinda beezoobye ne baddereeva
Okulonda obukulembeze bwa takisi mu Nyendo e Masaka kuyiise oluvanyuma lw’abamu ku bagoba ba takisi okusikangana ebitogi n’abebyokwerinda. Kino kiddiridde abawagizi ba George Kiberu omu ku babadde besimbyewo ku bwa ssentebe okululumba ababadde babala obululu nga babalumiriza okubeeramu kyekubirira. Poliisi eriko beekutte wakati mu kavuyo.