Okulonda kwa NRM, e Ntuusi Ssekikubo attunse n’amagye
Wabaddewo vvawo mpitewo mu town council y'e Ntuusi mu district y'e Sembabule, omubaka Thoedre Ssekikubo bw'abadde atuuka ku kitebe ky'eggombolola okwetaba mu kulonda kw'akamyufu k'ekibiina.Ono amagye gamulemesezza okutuuka mu kifo awalondebwa ekimutanudde n'awanyisiganya nabo ebisongovu.Ekisinze okunyiiza Sekikubo, kwekuba nti munnamagye Gen. Fenehansi Katirima atali mu mulonzi wa mu kitundu ye akkiriziddwa okuyingira nga yebuuza ensonga ebadde emulemesa.