OKULONDA KW’E GOGONYO: Akakiiko k’ebyokulonda kagamba si kwa kuyimirira
Wadde nga abesimbyewo babiri bavudde mu lwokaano, lw'okuddamu okulonda omubaka wa Gogonyo mu district y'e Pallisa, abakulira eby'okulonda mu district eno batubuliidde nti akalulu kaakugenda mu maaso. Mu kiseera kino, olwokaano lusigaddemu munna-NRM Derrick Oronye yekka nga Patrick Koboi eyali akwatiidde NUP bendera yabivaamu dda. Olwaleero ne Issa Taligoola abadde talina kibiina naye asazeewo alekere Oronye.