OKULIWA ABABBIBWAKO ENTE: Museveni atongozza enteekateeka ya buwumbi 150
Pulezidenti Museveni alagidde abebyokwerinda mu bitundu bye Teso, Lango ne Acholi okwongera okuteeka emisanvu mu makubo agenjawulo okusobola okukawata ababbi b’ente abesomye okutigomya ebitundu ebyo okuva e Karamoja gyebabadde bamanyiddwa Museveni bino abyogeredde ku mukolo gwokutongoza okusasula abafiirwa ente zaabwe mu bitundu bino era nasaba abeeno okwettanira ennima ey'omulembe okusobola okweggya mu bwavu. Omukolo guno gubadde mu disitulikiti ye Soroti nga era obuwumbi obuli eyo mu 150 bwebuteereddwa ebbali okusasula ababibwako ente zaabwe.