OKULAMAGA E NAMUGONGO: Abavudde e Fortportal ne mu Ankole basenvudde
Abalamazi okuva mu ssaza ly’e Fort Portal olwaleero bawezezza olunaku lulamba bukyanga basimbula okuva ku kitebe Kye Ssaza lyabwe e Virika mu Fort Portal. Kyokka bano bali mu kattu, kubanga ebikozesebwa mu by'obulamu bannakyewa abatambula nabo byebabadde bakozesa bikeeye. Kino kiddiridde abantu bangi abaakoseddwa mu kutambula kuno, era nga n’abamu baatwaliddwa mu ambulance okutuuka mu kifo abalamazi gyebaabadde balina okuwummulira.