Okukwatibwa kwa Kivumbi; abakulu mu NUP bambalidde ab’ebyokwerinda
Abakulu mu kibiina ki National Unity Platform bambalidde abeby’okwerinda be bagamba nti basusse okukwata abantu baabwe nga babajwetekako ebisango ebitategeerekeka. Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Achileo Kivumbi akulira abakuumi ba Pulezidenti w'ekibiina kino Robert Kyagulanyi. Kigambibwa nti ono yasangiddwa n'ebintu ebyekuusa ku amagye era olunaku lw'eggulo waabaddewo okwaza amaka ge agasangibwa e Nansana.