OKUKWASISA EBIRAGIRO BY’OMUGGALO: Waliwo alumiriza poliisi okumukuba essasi
Waliwo omukazi omu alumiriza Poliisi okumukuba essasi mu kugulu e Mubende abasirikale baayo bwebabadde bakwasisa amatteeka ga Kaafiyu mu kiro ekikeeseza olwaleero. Wabula Poliisi egamba nti wewaawo essasi lyafulumye, kisosonkole kyalyo kyekyalumiza omuntu ono naye si ssasi nga bwagamba.