OKUKUZA ABASERIKALE BA POLIISI: Minisita Kahinda Otafire yeegaanye eby’okusosola
Ekitongole kya poliisi olwaleero kirangiridde nga bwekikuzizza abaserikale 773 ku mitendera egy'enjawulo. Mubakuziddwa mubaDdemu abamyuka ba ssaabapoliisi, bakamisoonna n'abamyuka baabwe saako n'abalala. Minisita w'ensonga z'omunda Kahinda Otafiire ategezeeza nti emitendera gyebayitamu okukuza abapoliisi bwegiteesigamye ku mawanga oba ekikula, wabula ku ngeri oli gy'awereezzaamu.