OKUKUUMA OBUTONDE: Palamenti y’abavubuka esabye gav’t eyongeremu amaanyi
Mu ngeri yeemu Palamenti y'abavubuka esabye gavumenti okwongeraamaanyi mu kukuuma obutonde bw'ensi okwewala ebibamba ng'amataba ebizze bibaawo mu ggwanga n'ebireka byonoonye embeera z'abantu Abavubuka bano olwaleero bakiriziddwa okukubaganya ebirowoozo mu kisenge ababaka ba palamenti webateseza mu lutuula oluguddwawo sipiika wa palamenti Anita Among. Sipiika yeyamye okutuusa ebiteeso bya'abavubuka bano eri gavumenti.