OKUKAKA ABAKAZI OMUKWANO: Makerere etaddewo enkola abakoseddwa mwebanaayita okuwaaba
Minisitule y’ebyenjigiriza eragidde amatendekero gonna agawaggulu okuteeka munkola etteeka erirwanyisa okukabasanya abayizi naddala abawala nga emu ku ngeri y'okubataasa okuva ku basomesa abasajja abalimu emize gino. Mu bubaka bw'atisse sipiika wa palamenti Jacob Oulanya, minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni ategezeezza nga abazadde bwebeesiga abaamasomero ekiviriiddeko abasomesa bangi okwefuula bannamunswa.