OKUJJUKIRA SAM NJUBA: Banna FDC : Ebiri mu kibiina kati byennyamizza
Akola nga president w'ekibiina ki FDC ekiwayi ky e Katonga Erias Lukwago, agamba nti Sam Njuba bwawulira ebigenda mu maaso mu kibiina kino yenyoola muntaana gyali. Njuba yaliko Ssentebe w'ekibiina ki FDC ate nga y'omu kw'abo abakitandikawo. Webutuukidde olwaleero ng’ekibiina Kirimu enjawukana era nga kati kirimu ebiwayi bibiri.Bino bibadde ku mukolo ogw’okwebaza Katonda olw'obulamu bwa Sam Njuba saako n'okutongoza ekitabo kyeyaleka awandiise ekiyitibwa ‘The Betrayal’.