OKUJJUKIRA AMEENUNULA: E Kakumiro enteekateeka ziwedde
Enteekateeka z'okujjaguza olunaku lw’amenunula olwa NRM olunaabawo olunaku lw'enkya zigenda bukwakku mu distulikiti y’e Kakumirio.
Okusinziira ku Ssaabiminisita Robinah Nabbanja, Tutegeezeddwa ng’egimu ku mikolo egigenda okukolebwa olunaku olwenkya kuliko preisdent Museveni okukwasa abamu ku batuuze beeno Ebyapa ku ttaka ly'amasaza agaabuula, okutongoza oluguudo oluva e Kakumiro okutuuka e Buhimba olumu ku ezo ezigenda okutambuza amafuta n'ebirala Enkya gigenda kuwela emyaka 37 nga ekibiina kya NRM kiri mu buyinza.