OKUJINGIRIRA EBYAPA: Kkooti yeejjeereza baataano NSSF be yali evunaana
Waliwo abantu bataano abejjerezeddwa emisango gy'okujingirira ebyapa ku ttaka lya NSSF erisangibwa e Lubowa, oluvannyuma lw'ebannga nga bawerennemba. Kino kiddiridde kkooti esookerwako e Makindye ebadde ewulira omusango guno okuzuula ebituli mu bujulizi obwaleetebwa okuluma abawawaabirwa era nekkaanya nabo nti tebalina byapa bye bajingiirra. Bano bateekateeka kweddiza ttaka lyabwe mu kiseera kino eriri wansi w'obukuumi bwa NSSF.