OKUGOBA ABATEMBEEYI KU NGUUDO: Lukwago alabudde gav’t, nayo emwanukudde
Loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago alabudde gavumenti ku by'okumala gagobaganya basuubuzi abakolera ku nguudo z'omu Kibuga Kampala ng'agamba nti kiyinza okuviirako KCCA okufiirwa omudidi gw'ensimbi singa bamala ne baddukira mu kkooti. Gavumenti yo egamba nti enteekateeka y'okugoba abasuubuzi abakolera ku nguudo egendereddwamu kutereeza kibuga era nga tesaanye .kuyingizibwamu byabufu.