OKUGGYAWO OMUGGALO: Nabbanja akalaatidde bannayuganda okwekuuma COVID-19
Ssabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja anywezezza eky’okutaggulula omuggalo ogukyali ku mirimu egimu wadde nga omweyubulo ogwa Covid-19 ogw’ekika kya Omicron kyegiriisa wonna mu nsi. Nabbanja akubirizza Bannayuganda okwongera okwerinda Covid nga bagoberera ebiragiro bya ab’eby’obulamu ku kwetangira Covid.