Okuggala ekkaddiyizo ly’eggwanga; gavumenti egamba egenderedde kulongoosa mpeereza
Gavumenti egamba nti okuggalwawo kw'ekkadiyizo ly'eggwanga ssi kyakukosa nnyo bya bulambuzi kubanga bingi ku bisangibwa mu kifo kino abalambuzi basobola okubisanga mu makaddiyizo ag'enjawulo agasaasanidde eggwanga. Kyokka gavumenti ekakasizza nti newankubadde nga yakufiirwa ensimbi eziwerako mu myezi e Kkumi ekkadiyizo lino gye linaamala nga liddaabirizibwa, bwerinaaba liwedde lya kuyingiza ensimbi esinga kw'ezo ezibadde ziyingizibwa.