OKUGAANA OKWEGEMESA: Abasawo bawakanyizza eky’okuteekawo ebibonerezo
Ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga Ki Uganda Medical Association kisimbidde ekkuuli ekiteeso kya gavumenti ekyokukifuula ekyobuwaze buli munnayuganda okugemebwa endwadde nga covid-19 nga atakikola wakusibwa omwaka mulamba. Bino byebimu ku biri mu bbago erirungamya ebyobulamu li Public Health Mangement Act. Amyuka akulira ekibiina kino Edith Nakku Joloba ategezezza akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu nga bbo abasawo bwebatali beetegefu kulinyirira ddembe ly'abannayuganda nga ekisaanidde kwekubaagazisa okugemebwa nga babasomesa obulungi obukulimu