OKUFUNA SSENTE MU LUKUJJUKUJJU: Abadde afeera abantu ku bya Spark ne NTV asuze Luzira
Omulamuzi wa kkooti ento eya LDC asindise Latiff Bukenya eyeeyita Osma Pro,ku alimanda nga ono abadde aludde ng'afera abantu mu linya lya Spark TV ne NTV ng'abasuubiza okubawa emirimu Ku lwokuna lwa wiiki ewedde, poliisi mu bitundu by'e Makerere - Kavule yakwata Latiff Bukenya n'emuggalira oluvannyuma lw'okumukwatira mu bufere. Kigambibwa nti ono yali agezaako okujja ssente ku mukazi omu mu bitundu by'e Makindye gweyasanga mu saluuni ye n'amusuubizza omulimu gw'okuwunda oba okukola make up ku bakozi ba Spark TV ne NTV abagenda ku mpewo.