OKUBULANKANYA ENSIMBI: Cosase eyagala akakiiko k’ettaka kasattululwe
Akakiiko ka palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti kaagala akakiiko k’ettaka aka Uganda Land Commission kasatululwe olw’okwenyigira mu mivuyo gy’okubulakanya ensimbi ezaalina okukozeseebwa okuliyirira abantu gavavementi beba eguzeeko ettaka. Mu alipoota y’akakiiko, eyayanjuddwa mu palamenti eyawamu, ababaka era baagala abantu sikonoomu abeenyigira mu mivunyo gino bakangavulwe n’ensimbi zebabulankanya bazisasule.