OKUBALA ABANTU: Ebitundu ebirimu ebibamba byandisomoozebwa
Ekitongole ky’emiwendo n’ebibalo ki Uganda Bureau of Statistics, UBOS kitegezeezza nga buli munnayuganda bw'agenda okubalibwa newankubadde waliwo ebitundu ebiri mu kutawanyizibwa amataba.Bano batukakasiza nga ababazi bwebateekeddwa okukola buli kisoboka okulaba nga abatuuka ku bantu.Bo abanaabera ku mirimu nga bannamawulire, abasawo n’abasirikale baakubalibwa ku mirimu gyabwe nga mukiro ekinaakeesa olwokutaano oba census night, abatambuze nga ba ddereve be mmotoka enene bwebajja okubalibwa ku nguudo ez'enjawulo.