OGW’OKUTTA KATANGA: Abavunaanibwa bazziddwayo ku alimanda
Omulamuzi wa Kkooti enkulu Isaac Muwata ataddewo oLwa 21 February 2024 okusalawo oba abavunaanibwa okutta omusubuuzi Henry Katanga banakkiriza okweyimirirwa.Mu basaba okweyimirirwa mulimu bawalabe ababiri Martha Nkwanzi ne Patricia Kakwanza.Bano bavunaanibwa kusanyaawo bujulizo obw'enkizo mu musango guno amangu ddala nga kitaabwe yakattibwa .Wabula omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya, asabye omulamuzi Muwata abawawaabirwa bano Nkwanzi ne Kakwanza obutabakkirizi kweyimirirwa , wabula ateekewo olunaku kwebanatandikira okwewozaako kubanga abajjulizi webali.Wabula era Muwaganya agamba nti kkooti bweba yakubakkiriza kweyimirirwa erina okubateekako obukwakkulizo obukakali , omuli okuwaawo ebyapa , pasipoota zabwe , okujja mu kkooti buli wiiki , saako ababeyimirira okussibwako obukadde kikumi buli omu.Abalala abasaba okweyimirirwa kuliko omukozi w'aawaka George Amanyire n'owe byobulamu Charles Otai.Molly Katanga nga ono ye mukyala w'omugezi naye ali mu kkomera ku musango gwegumu ogw’okutta bba.