OBUYINZA KU AKAAWUNTI ZA FDC: Lukwago awandiikidde bbanka ku ekanya ne Mafabi
Pulezidenti wa FDC atuula e Katonga Elias Lukwago ategeezezza nga bwagenda okuwandiikira bbanka zonna FDC gyetereka ensimbi obuttaddamu kukkiriza Ssaabawandiisi Nandala Mafabi n’omuwanika Geoffrey Ekanya kuteeka emikono ku biwandiiko ebiggyayo n’okuteekayo ssente ku lw’ekibiina. Mu ngeri yeemu Lukwago ne banne bakubye ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina Toterebuka Bamwenda mu mbuga z’amateeka ku ky’okuyita ttabamiruka wiiki ejja so nga kino kirina kukolebwa ssentebe w'ekibiina Wasswa Biriggwa . Wabula Obukulembeze bw’e Najjanankumbi bugamba ono Katemba yenyini kubanga byonna ebikolebwa biri mu mateeka.