OBUTEBENKEVU MU GGWANGA: Minisita Muhoozi waakunnyonnyola palamenti enkya
Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga olunaku lw'enkya wakunyonyola palamenti wa okunonyereza ku bulumbaganyi obwa Bbomu obw'emirundi ebbiri obutadde eggwanga ku bunkenke wekutuuse. Kino kidiridde omubaka wa Kasiro County Elijah Okupa okusaba gavumenti okutangaza palamenti ku mbeera y'obutebenkevu bw'egwanga.