Obungi bw’ababaka ba palamenti: Ky’ekiseera okulowooza ku ky’okubakendeeza?
Katikkiro Charles Peter Mayiga bweyabadde mu kusaba kwa paasika e Luweero yasomoozeza bannayuganda okutandika okufumintiriza ku namba y'ababaka ba palamenti eggwanga beririna abangi bwebati oba ddala betaagisa bwogerageranya n'ebyenfuna y'eggwanga oba n'amawanga agatusukkulumyeko mu by'enfuna.
Kyokka abalondoola ensonga boogedde akatuubagiro akaliwo nti kino nebwekiba kyakukolebwa walina okubaawo enongoosereza ezireetebwa mu palamenti ate nga abalina okuzikubaganyako ebirowoozo bebabaka bennyini.
Uganda mu kiseera kino erina ababaka abasuka mu bitaano.