OBUMENYI BW’AMATEEKA E BUTAMBALA: Abatuuze balumiriza poliisi obutakola kimala
Abatuuze mu gombololoa ya Bulo mu distulikiti y’e Butambala bekkokodde poliisi gye bagamba nti ebasibyeeko abamenyi b’amateeka mu kitundu kyabwe. Bano bagamba nti poliisi eremereddwa okugomba obwaala mu bazzi b’emisango nga n’oluusi abatuuze ababalopera emisango ate bebakwata.