OBULAMU BW’OBUKADDE: Baabano abasamba omupiira gw’ebigere okwekuuma obulungi
Olunaku lw’enkya nga 1 Ogw’ekkumi lugenda kuba lunaku lwa bakadde. Lukuzibwa buli mwaka okusobola okusiima ebikolebwa abakadde wamu n’okwetegereza ensonga ezikosa obulamu bwabwe. Nga twetegekera olunaku olwo, tutunuulidde abakadde abeekolamu ekibiina mwe bayita okulaba nga beekuuma nga balamu n’okulwanyisa endwadde z’obukadde.