OBUGENYI BWA GREEN: Uganda yaakufuna obukadde bwa ddoola 20
Omubaka wa America mu Kitongole ky'ensi yonna ki United Nationas Linda Thomas Green ategeezezza ng'ebbeeyi y'ebintu eyeekanamye bweva ku bulumbaganyi Eggwanga lya Russia bwe lyakola ku UkuraineGreen yabadde mu maka g'omukulembeze w'eggwanga E ntebe ku bugenyi bw'olunaku olumu. Ono era yategeezezza nga America bwegenda okuwa Uganda obukadde bwa Doola 20 nga bwe buwumbi bw'ezakuno 77 okutumbula ebyobulimi n'okudduukirira abakoseddwa enjala Obugenyi bwa Green buzze nga n'e minisita wa Russia ow'ensonga z'ebweru w'eggwanga lya Russia kyaggye akyaleko kuno.