Nnamukadde asowoddeyo emmundu okulwanyisa abamubba ettaka
E Mukono omukadde atemera mu gy’obukulu 90 asowoddeyo emmundu ye gy’agamba nti yamuweebwa okwekuuma oluvannyuma lw’olutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza n’agamba waakuwaliriza okukwata ku mmanduso yaayo ssinga abaagala okumutwalako ettaka lye tebeddako. Musa Mwanje agamba nti yazirwanako, alumiriza omusirikale agambibwa okweyita Sobbi okwekobaana n’abebyokwerinda nga baagala okumutwalako ettaka lye.