Nja kubafunira Minisita - Museveni asuubizza bannamakolero
Bannamakolero basabye omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni okubalondamu Minisita okusobola okutuusa ensonga zabwe mu lukiiko lwa baminisita oba cabinet. Olwaleero bano babadde n’ensisinkano ne Museveni okutema empenda butya bwebayinza okwongera ku byamaguzi byebakola wano, n'okukolagana ne gavumenti mukuggulawo eggwanga. Abasuubuzi bagamba nti abali mu cabinet kati tebamanyi bizibu bibaluma.