MUTWE NE BANNE BABATADDE : Kkooti y’amagye ebataddeko obukwakkulizo
Kkooti y'amagye olwaleero ekkirizza Eddy Mutwe n'abantu abalala 17 ababadde ku alimanda mu kkomera e Kitalya okweyimirirwa emisngo egyabaggulwako baligiwoza nga bava awaka. Abantu bano babadde mu kkomera okuva mu December w’omwaka oguwedde lwe baakwatibwa okuva e Kalanagala gye baali bagenze ne ssenkulu wa NUP Robert Kyagulanyi eyali anoonya akalulu.