Mubiru ayogedde ku by’okumugoba ku butendesi
Omutendesi Abdallah Mubiru eyagobeddwa ku mirimu ogw’okutendeka tiimu y’ekitongole kya Poliisi ey’omupiira agamba nti mwenyamivu olwababadde bakamaabe okumuwayo nga sadaaka wadde nga babande bamanyi bulungi ebizibu ebivirako tiimu okukola obubi mu liigi y’eggwanga. Ono yasikiziddwa abadde omumyuuka we John Luyinda ne Tony Mawejje akola bibiri okutendeka n'okuzannya.