MOSES KIRUNDA: Kkooti y’amagye emuguddeko ogw’obutemu
Wannyondo wa kkooti Moses Kirunda bazeemu okumusomera emisango gy’obutemu mu kkooti y’amagye ekulirwa Lt General Andrew Gutti. Ono alangibwa okutta omusuubuzi Majid Mugwanya. Olunaku lweggulo Ssaabawaabi wa Gavumenti yagyeko Kirunda emisango gyegimu gyabadde awerenemba nagyo mu kkooti e Makindye. Ono avunaanibwa ne Major Nelson Marks Kyatuka nga akola nekitongole ky’amagye ekikesi ekya CMI. Oludda oluwaabi nga lukulemberwamu Major Emmy Ekyaruhanga lutegeeza nti nga 14th/July/2021e Lungujja mu Ggombola ye Lubaga , Major Kyatuka ne Kirunda batta Magid Mugwanya. Major Emmy Ekyaruhanga ategezezza kkooti nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso era omusango negwongezebwayo okutuuka nga nnya October omwaka guno. Bwatyo Lt Gen Gutti asindise Major Kyatuka ku alimnda mu nkambi y’amagye e Makindye sso nga Kirunda asindikiddwa mu kkomera e Kitalya