Mmotoka egudde mu luwonko, 10 bafudde
Abantu 10 be bafiiridde mu Kabenje akagudde ku kyalo Kamukiirwa - mu tawuni kanso ye Rubanda ku luduudo oluva e Kabale okudda e Kisoro, mmmotoka mwe babadde batambulira bweremeredde omugoba waayo negwa mu luwonko. Akabanje kano kaguddewo ku ssaawa nga nnya ez’ekiro era nga kigambibwa nti omugoba w'emmotoka eno yabadde aweenyuuka buweewo. Poliisi egamba nti Abaafiiridde mu kabenje kano baabadde banoonyi b'obubudamu okuva mu ggwanga lya Congo abaabadde batwalibwa mu nkambi ye Rwamwanja mu e district ye Kamwenge.