Minisita Nankabirwa asuubizza bannayuganda e Canada obuweereza
Minisita avunanyiza kubyobuggana Obwensibo Ruth Nankabirwa ategezeeza nga gavumenti bwejja okuyambako bana uganda abawangalira mu gwanga lya Canada okubakwanagyana nebitongole bya gavumenti kibasobozose okwekulakunya nga tebabiddwako nsimbi zaabwe. Ono agamba nti bangi bazze babibwa nababbi nebalimbibwa abenganda. Ono okwogera bino yabadde asisinkanye bana uganda abawangalira mu gwanga lya canada abategeka omwoleso ogugenda okwetabamu ebitongole bya gavumenti e canada ne mu mwwezi gwa July omwaka guno.