LWAKI TAZZE WANO?: Ababadde beesunga Nabbanja e Buyende bavudde mu mbeera
Abatuuze mu tawuni council ye Buyende b'abadde beesunze ssaabaminisita Robinha Nabbanja okumuloopera ebizibu byabwe naddala enguudo ezaakolebwa mu ngeri ya gadibengalye Nabbanja yakomye mu ggombolola ye Bukungu ne Budipa nga wano teyatuuse ekyatanudde abatuuze okuva mu mbeera Abatuuze bakiikidde abakulembeze baabwe ensingo nga babalumiriza okutwala Ssaabaminisita mu bitundu by'ebbali wa district ate nga ebizibu bitandikira mu tawuni.