KITALO…! Omukazi asaze bba obulago n’amutta
Waliwo omukazi attiddwa abatuuze mu disitulikiti ye Ibanda nga bamulanga kusalako bba bulago.Kigambibwa nti entabwe yavudde ku mukazi ono kuteebereza nti bba yakozesa sente ze zeyamuweerezanga ebbanga lye yamala ku kyeyo e Saudi Arabia naziwasaamu mukazi mulala.Mungeri yemu Poliisi ebakanye n’omuyiggo gw’omusajja ategerese nga Wicliff Wasswa olw’okutta muganziwe. Ettemu lyabaddewo akawungeezi k’eggulo e Mutungo zone XII mu gombolola y’e Nakawa.