Kisaka, Luyimbazi ne Okello gavumenti efunye ababaddidde mu bigere
Frank Nyakaana Rusa kati y'akulira ekitongole ki KCCA ow'ekiseera, ono wakumyukiibwa Robert Nowere ate Sarah Zalwango akulire ebyobulamu.Amawulire gano galangiriddwa minisita wa Kampala Minsa Kabanda era abasatu ebbaluwa zaabwe ezitandika emirimu baazibakwanze dda.Tukitegedde nti bano ba kaseera era baweereddwa emyezi esatu. Abasatu bazze mu bigere bya Dorothy Kisaka, Eng. David Luyimbaazi ne Dr. Daniel Okello abaakwatiibwa ku nkoona olunaku olwokubiri.