Katikkiro mayiga akubirizza abaganda b’e Mbarara okwewala enjawukana mu mawanga
Katikkiro wa Buganda Charles Mayiga akalaatidde abaganda abali mu bitundu bye Ankole okunyweza obumu n'abantu be baayo ssaako okubayigirako empisa ennungi. Ono abadde yeetabye mu missa y'okunyenya amatabi eyindidde ku lutikko y'essaza ekkulu erye Mbarara. Emmisa eno ekulembeddwa Ssaabasumba w'essaza ekkulu ery'e Mbarara Lambert Bainomugisha.