Katikkiro asabye abantu babeere beerufu ku by’obulamu
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti okukukuta nga omuntu alwadde n’okulwawo okufulumya amawulire bye biviirako abantu okubuusabuusa enfa y’abantu baabwe. Katikkiro okwogera bino, asinzidde Bulange e Mengo gy’aweeredde n’amagezi ag’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obw’ebijambiya ebikyase nsanzi zino. Katikkiro era alambuludde lwaki emisinde egikulembera okukuza amazaalibwa ga Kabaka tegyabaddeyo olunaku lw’eggulo.